Exodus 3:7-10

7 aAwo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. 8 bKyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 9 cKale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya. 10 dNoolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”

Copyright information for LugEEEE